Abatebereza Okulya Munsi Olukwe Bagenze mu Kkooti Enkulu

0
626

Kkooti y’e Nakawa eweerezza abasibe 19 mu kkooti enkulu, batandike okuwerennemba n’emisango egya nnaggomola egyekuusa ku kuttibwa k’wbalakulembeze b’obusiraamu.
Omulamuzi Christine Nantege y’abasindise mu kkooti enkulu, oluvannyuma lwa gavumenti okutegeeza nti emalirizza okukungaanya obujulizi bwonna bwe beetaaga.
Abasibe bano 19 be bamu kw’abo 32 abawerennemba n’ogwokutta abasiraamu, wabula bano gavumenti yabaawula ku bannaabwe n’ebaggulako emisango emirala.