Abatuuze Bee Kanungu Bannoonya Bibanja Walala Lwa Nguudo Mbi

0
563

Abatuuze b’e Kanungu banyiivu, era bateekateeka kusenguka e Kanungu baveeyo, basenge mu bitundu ebyo gye basuubira okugabanira ku keeke y’eggwanga.
Ab’e Kanungu bagamba nti bakooye gavumenti okubatimbanga bbula, jjo na luli ebasuubiza naye tetuukiriza.
Banokoddeyo eky’enguudo embi eziri mu kitundu, nti zino gavumenti emaze emyaka n’ebisiibo ng’esuubiza okuzikola naye bikoma mu bigambo.