Abatuuze e Ziroobwe Baazira Eddwaliro Lya Gavumenti

0
1071

Abatuuze b’omu Ggombolola y’e Ziroobwe e Luweero bazize eddwaliro lya Gavt eriri ku ddaala lya Health Center three lwa mpeereza yalyo ebbi n’obutabaamu ddagala.
Abasajja bano n’abakazi bagamba nti wadde bali mu kyalo bamanyi bulungi eddembe lyabwe era tebayinza kwesiba ku ddwaliro mutali basawo.