Ab'e Bwaise Baagala Mbalirira ku Mwala

0
1130

Enkuba buli lw’etonnya amazzi neganjaala abali e Bwayise bevuma myala nga lubigi, wabula abatuuze bebamu mu kitundu kino basimbidde ekkuuli enteekateeka zokusima omwala omupya ogwe lubigi nga bagamba zandibaamu ekibba ttaka nga bakyetaaga okusomesebwa okumanya ekituufu ekigenda okolebwa.
Bano basinziide mu lukungaana lwebatudemu nabakulembeze baabwe nga lugenderedwamu okubatangaaza ku ntekateka y’okuzimba omwaala gwa lubigi nga bakulembedwamu meeya we kawempe emanuel sserunjogi.