Akabenje Katuze Mwenda Mu Ttumbi

0
578

Abantu 9 bafiiridde mu kabenje ka mmotoka ku luguudo lw’e Masaka enkya ya leero, bbaasi ebadde efumuuka obuwewo bw’eyingiridde lukululana. Kitegeerekese nti bbaasi eno ebadde eva Kampala ng’eyolekera Kannungu, bw’etuuse ku kyalo Kamutuuza n’eyingirira lukululana ebadde esimbye ku mabbali g’ekkubo.
Waliwo abantu abalala abakunukkiriza mu 20 abafunye obuvune.
Oluguudo lw’e Masaka lwafuuka kattiro ng’emirundi mingi ewulirwayo abafiiridde mu bubenje bwa mmotoka.