Akeediimo Mu Yunivaasite Kayingidde Olwokuna

0
614

Abakozi ba University za gavumenti olwaleero bayingidde olunaku olw’okuna nga beediimye, nga baagala gavumenti ebongeze omusaala. Ku university zonna emirimu misannyalavu tewali kitambula, era yo e Makerere abayizi beeweze okwekalakaasa, olw’emirimu okwesiba nga tewali kitambula.
Abakozi na buli kati bakyasimbye nnakakongo nti sibaakudda ku mirimu, okutuusa ng’ensimbi president ze yabasuubiza okubongeza zibaweereddwa. Yo gavumenti egamba ensimbi ez’okubongeza teziriiwo, naye ekyagezaako okuteesa nabo.