Babano Baagala Kayihura Anyoome Kkooti

0
1203

Ekibinja kya banneekolera gyange omuli abagoba ba bodaboda, abatembeeyi n’abalala beeweze okwekalakaasiza mu kkooti singa Gen Kale Kayihura ddala bamusimba mu kaguli abitebye.
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu baasalawo okukuba Kayihura mu mbuga ku misango egyekuusa ku kuwuttula abantu emiggo, nga bakirako abakuba ente.
Wabula ba nneekoleragyange bano bagamba nti Kayihura tasaanidde kuwozesebwa kubanga ye muntu asinze okulwanirira omuntu wa bulijjo.