Bamasomero Abazadde Baagariza

0
1020

Abakulira ekibiina ky’obwa nakyewa ekya Child Fund International webali bakukulumira abazadde e Kiryandongo ne Kyankwazi, olwokubazimbira ebifo webalina okukuliza abaana, nga tebanaba kubatwala mu masomero kyoka bo nebabyesamba.
Abazadde bagamba nti wakiri okusiiba n’abaana babwe awaka, naye bo ebyokubatambuza nedda, nga kati kyebagala wakiri ekitongole kibaterewo ebisulo, oba motoka ezinanona abaana mu maka gabwe.