Besigye Asabye Kayihura Alekulire

0
1042

Kkooti y’e Makindye bweyayita ssaabapoliisi Gen. Kale Kayihura ku misango egyamuggulwako, omu ku bannayuganda abeesunga ennyo okumwoleka amaaso nga ali mu kaguli, ye munna FDC Rdt Col. Dr. Warren Kizza Besigye Kifefe, era yabadde asuubirwa nnyo mu kkooti olunaku olweggulo, gyataalabiseeko. Kati no, Besigye akawangamudde, bwagambye nti obutagenda mu kkooti yatebuse balabe be beyategeddeko nti baabadde baagala kumumiza musu, wakati mu kavuvungano.