Besigye Ayatulidde Omulamuzi, Nneerayiza

0
676

Rtd Col. Dr. Warren Kizza Besigye Kifefe awerennemba n’egyokulya mu nsi olukwe oluvannyuma lw’okwerangirira ku bwa pulezidenti ng’okulonda kuwedde, amazeeko kkooti y’e Nakawa ebyewungula bwayimiridde mu kaguli n’agamba nti ebimwogerwako byonna bituufu tebyetaaga na kunonyerezaako.
Kino kiddiridde oludda oluwaabi n’olwaleero okutegeeza kkooti nga bwerukyanoonyereza.
Besigye asabye kkooti egobe omusango guno kyokka omulamuzi n’amuwa gabuwa addukire mu kkooti enkulu eyamukkiriza okweyimirirwa, kubanga yo ey’e nakawa terina buyinza obwo.