Betty Kamya Ayogedde Ebitabula Kampala

0
1261

Minsita wa Kampala Betty Kamya azzeemu okukasa nti endooliito eziri mu bukulembeze bw’ekibuga ky’eggwanga ekikulu zisobolera ddala bulungi okuggwawo ssinga etteeka eribalambika enkola y’emirimu lukyusibwamu.
Kamya ategeezezza bannamawulire mu Kampala nti kikyamu Bannakampala okulowooza nti abakulembeze baabwe bali mu ntalo mu kifo ky’okubaweereza