Buganda Etongozza Olukiiko Lw'ebyobulamu

0
825

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozezza Bboodi egenda okuduukanya ebyobulamu mu bwakabaka bwa Buganda, ng’omulimu omukulu ogwa bboodi eno kwe kutuusa obuweereza mu byobulamu ebisokerwko eri abantu aba Ssabasajja.
Katikkiro mu kutongoza bboodi eno agambye nti ekimu ku bizibu ebisinga okubonyabonya Buganda ne Uganda ensangi zino, by’ebyobulamu ebikyali ebibi ennyo.