Ebyabadde ku Kkooti Bikanze Ba Looya

0
1105

Ekibiina ekigatta bannamateeka mu Uganda ekya Uganda Law Society kiridde muttama, nekiragira gavumenti ya Uganda okunoonyereza ku byabadde ku kkooti olunaku olw’eggulo bo kyabyise okuwamba obuyinza bwa kkooti omwadde n’okutigomya bannamateeka.
Omukago guno era gutiisizzatiizza okubaako kyegukola singa gavumenti yeefula kyesirikidde ku nsonga eno, naddala ku byakoleddwa ku bannamateeka ababadde bazze ku kkooti e makindye mu musango ogwaggulwa ku ssaabaduumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura.