Ekitongole Ky'amasomero Egambye Gubasinze, Tebakoze Kimala Kulambula Masomero

0
1133

Ministry y’ebyenjigiriza n’emizannyo ekkirizza nti tekoze kimala okulambula amasomero, lwa nsonga nti ebikozesebwa tebiriiwo ate n’abakozi tebamala.
Kino ababaka ba paalimenti bagamba nti ye nnabe yennyini avuddeko amasomero okuva ku mulamwa, ne gatuuka n’okukola ebitajja nsa.
Bino byonna bivuddde ku nnabe eyazuuliddwa mu ssomero lya Green Hill, bwe kyazuuliddwa ng’abayizi babadde basomesebwa eby’obukaba.