Ekyoto: Kiki Ekinobya Abasajja?

0
820

Omuwendo gw’abasajja abanoba ne basuulira abakazi amaka gweyongera buli lukya munsi yaffe Uganda ekyeralikiriza ennyo abakulu abeebuzibwako ensonga.
Buli omu alina ensonga, wadde ezisinga zifanagana anti abasajja bagamba nti bakooye abakazi okubamalako emirembe. Olwaleero ku Kyoto ka tulabe ku basajja abanoba n’abakazi ani yeetaaga okubulirirwa?