Essomero Eryasooka Likaabya Amaziga e Masaka

0
812

Essomero ery’ebyafaayo erigambibwa nti ly’e lyasookera ddala mu Uganda eriyitibwa St Francis Xavier P/S erisangibwa e Masaka Villa Maria, bw’olituukako leero tolema kuyunguka zziga.
Essomero lino lyabangula abanene bangi mu ggwanga, era ebiseera byaliwo nga liri nga mata, ng’abayizi bali mu nkumi na nkumi naye olwaleero ba muswaba.
Eklezia a evuddeyo okutaasa embeera y’essomero lino.