Eyeefunyiridde ku Vanila Anoga Mudidi

0
591

Okuva edda obulimi bwebusinze okuyimirizaawo bannayuganda abatakola mirimu gya wofiisi era nga buyingiza kinene mu kittavvu ky’eggwanga.
Ebirime bingi ebigenze bijja wabula vanilla bweyajja, abalimi abamu baasalawo okudibya emmwanyi nebeemalira mu kulima vanilla.
Kyokka teyalwawo n’agwa ebbeeyi era abasinga nebamusaawa nga kwotadde n’okwevuma olw’okubasala.
Bbo abatono abaalemerako, kati ate basekera mu kikonde anti ensimbi banoga kiralu.