Gavumenti Etongozza Chapati ya Rolex

0
704

Bannayuganda mwebale kusaba, eky’okulya abamu kye basiba ku bawuulu ekiyitibwa Rolex kyekoledde erinnya, gavumenti evuddeyo okukitunda wano n’emitala w’amayanaja.
Rolex eba Chapati gye bakubiramu amagi n’ebirungo ebirala, era kyettanirwa nnyo abavubuka wano mu Kampala n’ebibuga ebirala.
Ministry y’ebyobulambuzi evuddeyo okwongera eky’okulya kino ettutumu, etaddewo n’ekivulu kiramba abasiika Rolex mwe banaayoleseza.