Kayihura Anyoomodde Kkooti, Talinyeeyo

0
492

Ssaabaduumizii wa poliisi Kale Kayihura abadde asuubirwa mu kkooti, talabiseko mu e Makindye eno era mungeri ennyangu oyinza okugamba akubye kkooti ekimmooni, nga tewali nsonga yonna eweereddwa ku butajja bwe, wadde okufunikawo amukiikirira.
Awo no ssaabawaabi wa gavumenti w’asinzidde n’ayagala fayiro y’omusango guno etwalibwe mu woofiisi ye ayongere okugitunulamu ekintu kkooti kyegaanyi era newa nga 29, omwezi guno okuddamu okutuula. Kkooti yali yayita Kale Kayihura ne boofiisa abalala musanvu bannyonnyole ku kyokukuba abantu emiggo naye Mpaawo ku ye ne basajja be alabiseeko mu kkooti.

More News