Kigundu ku Paalimenti, Ababaka Bamubuuzizza ku Kalulu Akawedde

0
1165

Nga ekisanja ky’akakiiko k’ebyokulonda akaliwo kisemberera okugwaako mu mwezi gwa musenene omwaka guuno, Ssentebe waako Yinginiya Dr. Badru Malimbo Kiggundu alabudde obulabe obuli mu biibina by’ebyobufuzi byona okukiirirwa ku kakiiko k’ebyokulonda akapya akagenda okulondebwa.
Mu kiseera kyekimu ababaka bakunyizza abakungu b’akiiko ku bululu obwakwatibwa n’abantu abamu abaali beesimbyewo mu kalulu aka bonna akaaliwo kuntandikwa y’omwaka guno.
Bano babadde balabiseeko mu kakiiko ka paalimenti akavunaanyizibwa ku by’amateeka.