Kkooti Ekakasizza, Kayihura Takyalabiseeko

0
956

Kkooti e Makindye eyimirizza okuwozesa ssaabaduumizi wa police Gen Kale Kayihura, ku misango egy’okukuba bannayuganda emiggo.
Kkooti okusalawo etyo ebadde egondera ekiragiro kya kkooti ya ssemateeka eya, eyasalawo nti eby’okuwozesa Kayihura bigira biyimirira, okutuusa ng’omusango gw’abawakanya okumuwozesa guvudde mu ddiiro.
Kayihura n’abasirirkale be abalala 7 baabakuba mu mbuga nga bavunaanibwa okutulugunya abantu ba bulijjo, be baaligita emiggo nga baaniriza Dr Kizza Besigye eyali avudde mu kkomera.