Kkooti Esazeewo Eggoye mu Gwa Kayihura

0
591

Ababadde beesunga owkeyiwa ku kkooti e Makindye omulundi omulala nate okubaawo nga ssabaduumizi wa poliisi Kale Kayihura avunaanibwa ogw’okutulugunya abawagizi ba Dr Besigye e wiiki ejja mugire nga muwummudde olwa kkooti ya ssemateeka okuyimiriza omusango ogwo mbagirawo.
Gen. Kayihura abadde avunaanibwa ne basajja be musanvu omusango gw’okuduumira abaserikale baabwe okukuba abawagizi ba Besigye emiggo abaali bamuwerekera bweyali ava mu kkooti gyebuvuddeko.