Makerere Mugale, Abayizi Beekalakaasiza

0
710

Abakulira ssettendekero wa Kyambogo, basazeewo okuwandiika abakozi abatali ba nkalakkalira bagire nga bakola emirimu egiyambako ettendekero okutambula, nga bwebasendasenda abakozi baabwe badde ku mirimu.
Ate ku kasozi Makerere abayizi bakedde kwegugunga nga bawakanya eky’okuggala University.
Akeediimo k’abakozi ba university za gavumenti w’owulirira bino kayingidde wiiki ey’okusatu, ng’abakozi baagala gavumenti ebasasule ensimbi ze babanja.