Mmengo Eyagala Tteeka Ku Mukenenya

0
1127

Obwakabaka bwa Buganda buvuddeyo ku lutalo olw’okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya, oluvannyuma lw’okukizuula nti ekirwadde kino kisinze kwegiriisiza mu bitundu bya Buganda.
Alipoota eno ekwata ku by’obulamu eyanjuddwa leero, era ab’ebyobulamu basabye amaanyi gongerwe mu kumalawo eky’abaana abazaalira ku myaka emito, n’okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya. Alipoota y’emu esabye amaanyi gateekebwe mu kusomesa abantu okweteekerateekera bezzadde.

More News