Muka Kasiwukira Waakwewozaako

0
630

Kkooti enkulu eragidde nnamwandu wa Kasiiwuukira nti ateekeddwa okwewozaako ku bigambibwa nti yalina ekkobaane mu kutemula bba omugenzi Eria Ssebunnya Bugembe.
Omulamuzi Musalu Musene okusalwo bwatyo kiddiridde abajulizi 23 gavumenti beyanjudde mu musango guno, nga bonna balumirizia nti Nnamwandu Sarah Nabikolo yeekobaana ne mutoowe Sandra Nakungu n’omupoliisi Jayde Ashraf, okutta Kasiiwuukira.