Museveni Agobye Abasawo e Nakawuka

0
964

President Yoweri Museveni olwaleero avudde mu mbeera n’agoba abasawo n’abakozi bonna ku ddwaaliro ly’e Nakawuka, nga abalanze kulagajjalira mirimu gyabwe.
Museveni olwaleero asiibye Nakawuka mu district y’e Wakiso, gy’agenze okwetegereza embeera y’ebyobulamu bw’eyimiridde.
Abantu bamusindidde ebizibu bingi bye basanga, nga mwe muli n’ekyabasawo ababadaaza nga bagenze okubajjanjaba.
Abamu batuuse n’okulumiriza omusawo eyalangira bannakazadde nti yakoowa abakazi abazaalazaala.
Bwatyo President abayise wakati mu lujjudde, n’abalagira basibemu ebyabwe bave ku ddwaaliro.