Museveni Awolerezza Poliisi Ku Miggo

0
647

President Yoweri Museveni akolokose kkooti ya police eyassibwawo okuwozesa abapoliisi abaakuba abawagizi ba DR Kizza Besigye emiggo.
President abadde Kyankwanzi ng’aggalawo olusirika lwa NRM n’agamba nti aba poliisi abo bandiba nga baali beetaasa ku bantu nga babakolako effujjo.
Museveni agambye nti n’okutuusa kati tannasisinkana Kayihura kwogera ku nsonga eno, erudde ng’egulumbya bannayuganda emitwe.