Mweyisizza Bubi ku Bannaddiini – Minisita

0
1099

Gavumenti evumiridde empisa envundu ezaayoleseddwa abatuuze b’e Ntaawo bwebaanaabye ensonyi ne balumba abalabirizi 35 abaabadde bakulembeddwamu mukama waabwe Ssaabalabirizi Stanley Ntagali okulambula ettaka ly’e kanisa erikaayanirwa mu kitundu ekyo.
Minisita akola guno na guli mu wofiisi ya Ssabaminisita Mary Karooro Okurutu agambye nti ekyakoleddwa abatuuze kiswaza nnyo era poliisi tegenda kuwummula okutuusa nga buli eyeetabye mu kikolwa kino akwatiddwa.