Nsegumire Alagiddwa Aliyirire Sserunjogi

0
725

KKooti enkulu mu Kampala eyongedde okukakasa Ssaalongo Musoke Sserunjogi nti ye meeya wa gombolola y’amasekkati g’ekibuga eyalondebwa bannakampala.
Omulamuzi Rugadya Atwoki agobye omusango gwa munna NRM Nsegumire Kibedi abadde awakanya obuwanguzi bw’ono, era amulagidde amuliyirire ensimbi zonna z’asasaanyizza.