Obwavu Wadde Bukendedde Naye!

0
831

Bannakyewa beeralikirivu ku muwendo gw’abantu abatandise okugwa mu byenfuna wewaawo ate obwavu bubadde bukendeddemu kko mu ggwanga.
Okusinziira ku Ssewakiryanga Richard akulira ekibiina ekigatta bannakyewa mu ggwanga ki Uganda National NGO Forum, agamba nti wewaawo eggwanga libadde liseesetusemu kko mu mbeera y’ebyenfuna nga abantu tebali bubi nnyo nga bwegubadde naye ate n’abagudde akatale mu mirimu gyabwe beebangi nga kale gavumenti esaanye ekinogere eddagala nga tekinnasamba ddagala.