Okola Nsobi Okukeeza Omwana?

0
1209

Enaku eyinza okukwata ng’okedde nnyo okugenda okukakalabya emirimu, n’osanga obwana obuto ddala obumu buba busumagira obulala babutadde ku bodaboda tewali yadde awerekera naye ng’ekinyiza mbu basoma nasale, abaffe kino kyaava wa? Kuva ddi ng’omwana asoma nasale azukuka mu bunyonyi? Omwana asoma nasale alina kutuuka ssaawa meka ku ssomero.