Omubaka Eyagula Erya UBC Gamumyuse

0
1028

Omubaka akiikirira Burahya mu paalimenti Margret Muhanga atunudde ebikalu mu kakiiko ka paalimenti akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti, bwe bakizudde nti yeetaba mu kukumpanya ettaka ly’ekitongole kya UBC, ekiddukanya Radio ne TV y’eggwanga.
Ettaka lino erisangibwa e Bugoloobi mu Kampala nga liweza yiika 23, baaligula obuwumbi 10 nga tebagoberedde mateeka, naye kizuuliddwa nti lyawanyisiganya emikono mu bantu 3 mu ddakiika budakiika.