Paalimenti Etabuse Ku Bamusigansimbi

0
700

Ababaka ba paalimenti abatuula Ku kakiiko akavunanyizibwa ku bwenkanya mu mpeereza y’emirimu batongooza enkola eyitiddwa “Wajja Otya Mu Uganda” nga egendereddwamu kuzuula bamusigansimbi ab’ebicupuli.
Ssentebe w’akakiiko kano Muhamad Nsereko ategezeza nti kakiiko kayise minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga abannyonnyole engeri abantu bano gyebesoggamu Ugandane batuuka n’okufuna olukusa okukola emirimu egya lejjalejja.