Poliisi Tennafuna Bbaluwa Ya Kkooti Ya Kayihura

0
1148

Ababadde basuubira okulaba ssaabaduumizi wa police Gen Kale Kayihura mu kaguli nga bamukunya gabalimbye, poliisi ya Uganda egambye nti tennafuna ku bbaluwa emuyita mu kkooti.
Bannamateeka abegatira mu kibiina ki Network for public Interested lawyers besowoddeyo okuwozesa Ssenkulu wa Poliisi Gen Kale Kayihura emisango egimuvunaanibwa olwa basajjabe okukkakkana ku bantu babulijjo ne babawewenyula emiggo.