Ssaabalamuzi Akukkulumidde Gavumenti

0
691

Ssaabalamuzi wa Uganda Bart Katureebe mwennyamivu olw’engeri gavumenti gy’esuuliriddemu ekitongole ekiramuzi, ate olwo n’ekisuubira okuweereza obulungi bannayuganda..
Ssaabalamuzi agamba nti ekitongole kino kijjudde ebisomooza bingi, so nga gavumenti ekyalina obusobozi obugonjoola ebizibu ebyo.
Abadde atongoza alipoota ekubye ttooci mu bizibu by’ekitongole ekyo.