UNRA Esenze Enyumba Ku 'Bypass'

0
715

Abatuuze ababadde bakyesisiggirizza mu bibangirizi omuyita oluguudo mwasanjala olwa Northern Bypass olwaleero bakeeredde mu maziga, ekitongole ky’enguudo ki UNRA kikedde nnawankya okusenda enju zabwe.
Abatuuze abasendeddwa beebo abali mu bitundu nga Kyebando n’emiriraano. Aba UNRA bagamba nti baabalabula nga bukyali kyokka ne beesisiggiriza, ate ekikwekweto kikyagenda mu maaso nga n’enkya ba kweyongerayo.