Wakeesi Kati Ye Mwogezi wa Poliisi

0
1181

Andrew Felix Kaweesi nate agudde mu bintu, ssabaduumizi wa poliisi Generali Kale Kayihura ayihura bwamuzizza ku kifo ky’omwogezi wa poliisi ya Uganda.
Kaweesi nga addidde kaminsona wa poliisi Fred Enanga, ogumu ku mirimu egimulindiridde kwekutereeza ekitongole ekyogezi mu poliisi n’okuddaabiriza ekifananyi kya poliisi ekibadde kitandise okuseebengerera.
Amangu ddala nga amaze okukwasibwa eddimu lino, Kaweesi atuuzizza olukungaana lwa bannamawulire mwayanjulidde byasuubira okutandikirako mu wofiisi empya emukwasiddwa.