Abaana Bafiiridde mu Muliro

0
582

Abatuuze ku kyalo Ntinda Zone LC1 ekisangibwa mu kibuga seeta ekiri mu munisipaali y’e Mukono bakeeredde mu kikangabwa abaana 3 bwebagyiridde mu nyumba, 2 ku bo nga balongo nebafiiramu.
Kitegerekese nti omuliro ogukutte ennyumba eno ng’obudde busasaana guvudde ku kataala ka tadooba bakadde b’abaana bano kebalese mu nju nga kaaka ne bagenda okukakkalabya emirimu gyabwe.