Enjuba Elwanye N'omwezi Olwaleero

0
1097

Olwaleero lubadde lwa njawulo wano ku lukalu lwa Africa, abantu bakedde kwerolera ku mwezi nga gusiikiriza enjuba, oluusi abaddugavu kye bayita enjuba okulwana n’omwezi.
Okusiikirizibwa kw’enjuba n’omwezi kubaddewo okuviira ddala mu ssaawa eza kalasamayanzi n’ettuntu lyonna, era mu mawanga agamu enzikiza ekwatidde ddala ne buba ng’obuzibye.
Omwezi kumpi gusiikiirizza enjuba yonna, era esigazzaawo akatundu katono akaaka, nga kafaanana omuliro.
Amawanga ag’obuvanjuba n’obukiikaddyo bwa Africa ge galabye embeera eno.