Abanene Beebasinga Okuvuga Obubi – Kasiima

0
1017

Ekikwekweto Poliisi kyeyaggula ku mmotoka n’abazivuga ku luguudo lw’emasaka kyongedde okunyiinyintira era nga kyanditwalira ddala ekiseera okutuusa nga obubenje ku nguudo bukendedde.
Ekikwekweto kino ekyatandikira ku lw’e Masaka kigenze okuweza omwezi, nga ebikumi n’ebikumi by’emmotoka ezitarina bisaanyizo gamba nga third party zezikwatiddwa okwo kwossa ne ba ddereeva abatalina permit, abazijingilira n’abavugisa ekimama.
Okusinziira ku akulira poliisi evunanyizibwa ku byentambula ku nguudo Dr Stephen Kasiima agamba nti abasinze okukwatibwa bali mu myaka mivubuka era nga bano ekisinze okubaviirako obuzibu kwekuvugisa ekimama.
Dr Kasiima ayongerako nti n’abakungu ba gavumenti (abeyita abanene) bangi abatagoberera mateeka ga ku nguudo, bavuga bubi olw’okuba tebagambwako ate nebatiisatiisa abaserikale ababayimiriza.
Kasiima bwatyo kwekutegeeza nga bwakooye amasimu agamukubirwa abaserikale be abntu abeyita abanene, abatagoberera mateeka ku nguudo.
Ono agamba nti nenkola y’okukuba ebipapula bagiggyawo dda ku luguudo lw’e Masaka olw’abantu obutagoberera mateeka.