Abawagizi Ba Kabaziguruka Kata Bakaabe Amaziga

0
1238

Kooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwomubaka wa paalamenti owa Nakawa Michael Kabziguuka abadde ayagala kooti eyimirize okuwozesebwa kwe mu kooti y’ekinamagye. Omubaka Kabaziruguruka mukusaba kwe yali ategezezza kooti nti engeri gyaali omuntu owabulijjo atali w’amagye tewali nsonga lwaaki emisango egyamutekebwako egy’okulya munsi olukwe agiwoleza mu kooti y’amagye eMakindye. Ba puulida be tebamatidde nebisaliddwawo kooti era bateekateka ekiddako