Okwekenneenya Omupiira Gw'abakyala

0
1117

Omupiira gwabakyala gututte ebanga nga gulinga ogukwebedde bw’ogerageranya nogwabasajja, wabula kino ebkibiina ebitwala omuzanyo guno ku mitendera egyenjawulo bifuba okulaba nga bikikyusa. Okutandikira wagulu ku FIFA etwala ogw’ensi, CAF etwala ogw’Africa ne FUFA etwala ogwawano, waliwo ekikolebwa okulaba nga empaka zabakyaala mu mupiira zeyongera era nga zijumbirwa abantu. Uganda yatuuka nokwewayo okutegeka empaka za CECAFA ezabakyala e Jinja ezaali zimaze emyaka 30 nga tezibaawo.