Entalo mu Butale ZaakumalirizaKCCA Buwumbi

0
1071

Ministry ya Kampala yaakusasaanya obukadde 300 okunonyereza ku mivuyo egiri mu butale, nga waakayita emyezi mitono nnyo ng’eyisizza obuwumbi bw’ensimbi okukulaakulanya obutale kyokka ne zifa ttogge.
Minisita wa Kampala Betty Kamya bino abitegeezezza akakiiko ka paalimenti ak’ensonga za office ya president kyokka ono akubaganye empawa ne lord mayor Elias Lukwago, bw’agambye nti ku mbalirira y’ekibuga tebalinaako sente ezo.