Aba FDC Bandyabulira Ekibiina Lwa Mmotoka

0
1044

Ekiteeso ky’ekibiina kya FDC eky’okumma ababaka mmotoka ez’obwereere ssinga kituuka gyebaagala, kyandyabuuluzaamu ekibiina nga kati abamu ku babaka bawera kutandikawo kibiina kyabwe ssinga ekiteeso ekyo kifuna obuwagizi. FDC eyagala ababaka baayo waakiri mmotoka ezo bazibawe ku bbanja baleme okusasaanya ensimbi y’omuwi w’omusolo.