Aba Kasasiro Basaba Sente Nnyingi – Basuubuzi

0
649

Loodi Mayor w’ekibuga Kampala nga ali wamu ne minisita wa Kampala Betty Olive Namisango Kamya, ba mayor b’amagombolola ataano n’abasolooza kasasiro mu kibuga basisinkanye abayoola kasasiro, kko n’abantu abakolera mu kibuga.
Mu bimu ku bikubaganyiziddwako ebirowoozo z’ensimbi zebasaba abantu ez’okuyoola kasasiro ennyingi ennyo sso ng’ate bazisaba mu bukambwe ekimazeeko bannakampala emirembe.
Nabwekityo olutuula luno lugendereddwamu okuzibikira emiwaatwa n’okwongera okuyonja ekibuga buli omu akyeyagaliremu.