Aba Poliisi Aba Abafeffetta Ababbi Bagenze Kusoma

0
635

Poliisi ya Uganda ewakanyizza ebibadde biyitingana nti yasattuludde ekibinja ekirwanyisa abazigu ab’emmundu, ekimanyiddwa ennyo nga Flying Squad.
Poliisi egambye nti ekibinja ekyo kyasindikiddwa Masindi, bofiisa bongere okubangulwa, bafune obukugu mu mulimu gwabwe.
Waliwo ababadde beemulugunya ku kibinja kino nti bofiisa abamu emirimu gyabwe girimu ebirumira.