Ababaka Baagala Silingi Eddemu Omuzinzi

0
1105

Ababaka ba paalamenti basabye gavumenti eteekewo amateeka agakuumira silingi ya Uganda ku muzinzi gwegumu nensimbi engwiira nga mukino silingi erina okuweebwa enkizo. Mu musomo kungeri ababaka ba paalamenti gyebalina okukwaata ensonga ezikatagana ne sente era ne banka enkulu, ababaka bagambye nti banka enkulu kyerina okukola kwekulaba nga efaayo nnyo okukakasa nga silingi ya Uganda ekozesebwa nnyo okusinga ensimbi engwiira