Ababaka Baleeta Bbago Ligaba Murimu

0
572

Paalimenti etandise kaweefube ow’okubaga ebbago ly’eteeka erituumiddwa graduates service scheme erigenda okukaka okuwa emirimu abantu abasomedde mu University zaayo, ebawenga emirimu okumala omwaka mulamba basobole okufuna obukugu abakozesa bwebetaaga.
Kino kivudde ku mbeera eriwo kati ey’enkumi n’enkumi z’abayivu abatambula kumpi bwoya kubaggwa ku ntumbwe nga tewali abatunulako olw’obutaba na bumanyirivu bwetaagisa mu mirimu gyebaba basomye.