Abachayina Bafuuye Olw'ewaabwe Ababaka Nebabula

0
769

Abakulira kampuni za Bachina ezizimba enguudo mu Uganda katono bakaabire mu kakiiko ka paalimenti akakola ku bitongole bya gavumenti ng’ababaka baagala bannyonnyole lwaki baagaana okuliyirira bantu abaayonoonewa ebyabwe mu kuzimba enguudo so nga ekitongole ky’enguudo ensimbi zonna yazibakwasa.
Ababaka babakunyizza Abachina oluzungu ne lubula, olwo nebatandika okufukuta Oluchina ate ababaka ababadde babasoya ebibuuzo ne bibasobera.