Abakugu Batudde Okusalira Obutabanguko Amagezi

0
547

Gavumenti ngeyita mu ofiisi ya saabaminisita ne ministry y’ebyamateeka emaliriza enteekateka okuvaayo n’enkola mu mateeka enagoberelwanga okutawuluza enkayana n’obukubagano era n’okukakasa nti egwanga libukaddemu emirembe. Wabula abamu ku bakwatibwaako ensonga eno bagamba nti okwebuuza okusinga kwandikoleddwa mu bantu abawansi ngeeno yewasinga okubeera ebizibu ebivaako obukubagaano oba obutakaanya